Archives For Luganda

Okumala ebbanga ddene babadde mu lungereza na Lujapani. Kati Twitter etandise okunonya enzivunula ku mukutu gwabwe. Bagenda kutandika n’olugirimaani, Olusipaana, Olufaransa wamu n’oluyitale. Omukutu gwa Twitter gugamba
:

Twitter kati esobola kufunibwa mu lungereza na lujapani. Nga tufunye obuyambi obwenjawulo, gyebbujja tugenda kutongoza enkola mu lufaransa, oluyitale, olugirimaani, wamu n’olusipaana. Ennimi zino zibadde zogerwako nga tukozesa ekigambo FIGS era nga ebiseera bingi ze zisokerwako ku mikutu nga Twitter nga twetaaga okugaziya obungi bw’ennimi ezikozesebwa. Gyebujja, tusuubira okuwereza Twitter mu nnimi endala nnyingi. Tekinologiya ne bweyeyongera amaanyi, tujjukizibwa buli lukya nti tulina kukolera bantu era ekyo tukirowozezzaako nnyo nga tugezaako okuvvunula Twitter.

Kino kikulu nnyo eri abo abatakozesa lungereza nga olulimi lw’obuzaliranwa. Ekimu ku bizibu byokutandikawo Twitter mu mawanga ga Afirika agatakozesa lungereza kya kuba nti, wadde nga abogera olufaransa bangi abakozesa Twitter, omukutu guli mu lungereza. Nga Miguel bwanokolayo, okwongerako obwongezi olufaransa kijjakuggulawo omukutu guno eri abantu abayitirivu abali mu Afirika w’amaserengeta ga Sahara. Nga agezesa enkola eno wiiki ewedde, yayongerako nti enkola y’okuvvunula okuteeka mu luswayiri ne Afrikaans nayo weri, ekitegeeza nti Twitter erowoleza mu si yonna.

Nga obuganzi bwa Twitter bweyongera okulinnya, batandise okulowooza ku ngeri y’okugaziya obungi bwabagoberezi esobole okuvuganya obulungi n’emikutu nga hi5 ne Facebook, nga bano bombi bayingidde nnyo mu mawanga agakyakula, naddala mu Afirika. Kino kirina okwongera obuganzi bwa Twitter. Okusobozesa abantu okukozesa omukutu guno n’okugutambulamu nga bakozesannimi zaabwe kigulawo ekkubo eri abo abeetaaga okugikozesa, era nga kisobozesa okukozesa ebintu ebyetolodde omuntu oyo.

Bannabyabutale aba Dow Jones balonze Nokia nga kampuni esinga obuggumivu mu kutangaaza kwabwe okwomwaka 2009/2010. Oluvannyuma lwokukulembera e Bulaaya okumala emyaka egiwera, Nokia efuuliddwa “Kampuni ekulembedde ensi yonna mu tekinologiya”. ITNewsAfrica egamba:

Nokia ebadde egatta ebitwetolodde wamu n’enkola enzigumivu mu ngeri gyebadde eddukanyaamu bizinesi okumala emyaka egisukka mu 10 era kampuni erowoza nnyo ku byobutonde mu bintu byonna byebadde ekola. Kino kikendeezezza okwonoona embeera yobudde mu kusiba ebintu, enkozesa yamasanyalaze, ebyetagisa okukola, okukola ebintu ebipya wamu n’okukyuusa ebikoze okubizza obujja.

Nokia ekola n’ebibiina bya gavumenti ebyenjawulo, eby’obwannakyewa wamu n’abazira kisa okubunya enjiri yokukozesa amasimu okukuuma ebyobutonde wamu nokugonjoola ebizibu byabantu wamu n’ebyenfuna. Emu ku pulojekiti zabwe ezakakolebwa ye nkwaso (sofutiweya) ali mu kukozesebwa abebyobulamu okulondoola n’okulwanyisa okubalukawo kwendwadde mu Brazil, wamu n’okukozesa ebya mobayilo okutuusa ebikozesebwa mu masomero eri abaana mu bifo ebiri ewala ennyo mu Brazil, Philippines ne South Africa.

Nga emu ku nkola y’okulabirira ebyobutonde, Nokia yeyongera okukola ku kukendeeza amasannyalaze agakozesebwa wamu n’okwongera obwangu mu mirimu gyabwe. Ebimu ku bye bakoze mwe muli okukendeeza okutambula, okuteeka sente mu kunonyereza wamu n’okukola tekinologiya omupya nga bakozesa ebyamasannyalaze ebisobola okuddizibwawo, era esuubira okwongeza ku nkozesa y’amasanyalaze agava mu bintu ebitayonoona bya butonde nga kati kye kimu kyakuna kyamasanyalaze ge bakozesa.

Nokia emaze okufuna ebirabo ebyenjawulo olwamasanyalaze gano.

IBM yegasse ne Canonical okukendeeza ku bbeeyi ya bu kompyuta obutono obuyitibwa netbooks. Basuubira okukozesa enkwaso eziri ku yintanenti okukendeeza ebbeeyi ya sofutiweya wamu nebitundu bya kompyuta ebyebbeeyi. netbooks zino zijja kujja nga osobola okuwereza ebbaluwa ya email, okukola ebiwandiiko, okuwanyisiganya obubaka, wamu n’okwegazanya n’abalala. Triangle Business Journal ewandiika…

Bizinesi nnyingi mu Afirika tezisobola kugula kompyuta eri abakozi baabwe bonna. IBM ne Canonical baagala okukyuusa kino, babeeko kye bakola ku katale ka Afirika, nga bawaayo netbooks eziddukanyizibwa ku Ubuntu Linux – eno Linux ya bwerere okuva mu Canonical, nga evuganya ne Windows eyebbeeyi etundibwa Microsoft era ekozesebwa ku kompyuta ezisinga obungi mu ensi.

Wadde nga okuyingirawo kwa kompyuta ez’essente entono kwamaanyi ku ssemazinga ono, ssiri mumativu nti ebitundu by’amaserengeta ga Sahara bino byetegefu okukozesa tekinologiya ono. Okukwatagana kweyongedde okuba okwesente entono, naye era kukyaali kwa bbeeyi eri bizinesi entonotono wamu n’abayizi. Nabo ku ffe abalina yintanenti mu ofiisi, omuyungo guno gutera okuba nga munafu nnyo nga tegusobola kukozesa tekinologiya ono gwe baagala okukozesa owa cloud.

Laptop enkadde nga za sente ntonoko, nga zikyaali za maanyi okusinga netbooks empya ezisinga, nazo kiddukiro kirungi eri bizinesi entono. Ebiseera ebisinga, okwongera amaanyi mu kujjukira (RAM) kimala okufuula lap top eno okukola nga kompyuta empya, naye nga okozesezza sente eziri wansi wa kimu kyakubiri kyokugula empya. Essimu za Smartphones ezisobola okukwatagana ne netbooks nazo kiddukiro kirungi naye tulina okusooka okulaba nga ab’ebyempuliziganya bakendeezeaa ku miwendo kiryooke kibeere ekyamagezi.

“Netbooks za Afirika” bu butuufu nkola ya bizinesi mpanguzi, okusingira ddala mu bifo nga South Africa ne mu buvanjuba bwa Afirika, okuyungibwa ku mikutu gye kukulaakulanye ennyo. Wabula, nga mu America, ssi kiddukiro kirungi okuva ku zi kalimagezi za lap top ezamaayi, naddala mu bifo okuyungibwa nga bakozesa tekinologiya wa cloud gye kiyinza obutasoboka.

Sabiiti ewedde, South Africa yatongoza satelayiti yaayo eyokubiri, ku luno nga eva Baikonur mu Kazakhstan. Nga ogasseeko okulondoola eby’obulimi wamu n’enkola yebyentabula, satelayiti eno ejjakulondoola abantu abayingira n’abafuluma mu South Africa wamu n’obungi bwamazzi ku mabibiro n’ebidiba. Bino byonna birina okusobozesa ekitongole kyebyobulimi okufuna obubaka mu bwangu, nga kiyamba abalimi okugumira obuzimu mu makungula obuva ku kyeeya, embeera y’obudde embi, nebirala ebigwa bitalaze.

Nga ogasseeko okugonjoola ebyobulimi, satelayiti eno essibirwa okwongeza obungi bwa yintanenti obuliwo wamu n’obugenda okuva mu mukutu oguyita wansi w’amayanja.

SumbandilaSat yakolebwa ku muwendo gwa rand za South Africa obukadde 26 (eza Uganda obuwumbi nga 6 n’ekitundu) era nga esuubirwa okukola okusinga NIGICOMSAT, eyatongozebwa gavumenti ya Nigeria era nga erina okuddabirizibwa. Satelayiti endala, RASCOMSTAR, yatongozebwa mu 2007 ku lwamawanga ga Afirika 56 naye yafunamu obuzibu nga yakatongozebwa, era nga kati ekitundu ku yo tekikola

Bivudde mu The Industry Satandard

Obwegugungo obwaaliwo e Kampala gye buvuddeko bweyongedde okusajjuka. Ekibiina ekigatta bannamawulire mu Kenya kiwandiise ekibaluwa ky’olwaatu ku lwa munnamawulire Kalundi Serumaga eyakwatibwa mu biseera by’amasattira wiiki ewedde wano e Kampala:

Okukwatibwa kw’omuwandiisi, munamawulire era nga munnakatemba Kalundi Serumaga nga kwakolebwa mu bumenyi bwamateeka era nga kwakolebwa abantu abatamanyiddwa nga abebyokwerinda nga 11 Mutunda 2009 kintu kyantiisa nnyo eri eddembe ly’obuntu eryeyongera okusajjuka mu Uganda.

Okukwaatibwa kuno, nga mu mazima kwali kuwambibwa, wamu n’okutulugunyizibwa okwamutuusibwako, okuggalirwa mu bifo ebitamanyiddwa mu Kampala mu kiro ky’olwokutaano n’amakya g’olwomukaaga kyaali kityoboolera ddala ssemateeka wa Uganda n’olwekyo kijjamu ekinyusi emisango jonna egimuvunaanibwa.

Okutulugunyizibwa kwa Kalundi kyongera okwoleka akatyabaga ebikumi byabo abaakwatibwa mu kegugungo kano wiiki ewedde ke balimu.

kino kityooboola eddembe ly’okwogera wamu n’okwegazaanya ekityooboolera ddala eddembe ly’obuntu.

Ffe nga abawandiisi mu buvanjuba bwa Afirika tukubira omulanga zi gavumenti zonna mu kitundu wamu n’aba ebweru okuteeka gavumenti ya Uganda ku nninga okulaba nti mwaami Serumaga wamu n’abalala abali mu busibe bayimbulwa era n’emisango egibagwetekeddwako gikome.

Weyongere okusoma…

Tujjukira ebyaaliwo ku lwokuna lwa wiiki ewedde obusambattuko bwe bwabalukawo mu kibuga kyaffe ekikulu Kampala. Bwoba nga obeera wabweeru wa Uganda, oyinza okuba nga tewamanya byaaliwo. BBC yagezaako okubyogerako mu bujjuvu, naye ate CNN, France24 ne SkyNews tabaabigoberera mu ngeri y’emu. Ffe wano e Kampala twaali twelariikirira nti ekibugga kyaffe ekyaagalwa kyaali kigenda kutaaguuka kijjemu entalo z’amawanga. Mu bujjuvu, emikutu gya Observer, Newvision ne Monitor gyalina amawulire gano.

Ekyaddirira, Associated Press ne BBC batandika okufulumya amawulire wamu n’ebifananyi. Kino nsuubira nti kye kyaali ekintu ekituufu okukola eri bannamawulire bano ab’ensi yonna, nga embeera ezze mu nteeko oluvannyuma lw’abobuyinza okusitukiramu. Nga ojjeeko abakuuma ddembe betubadde tulaba ennaku zino, obuvuyo bulinga obwakoma era nga bwaali mu bitundu bimu na bimu. Mu butuufu, ssinga teyali mukwano gwange omu kunkubira ssimu, osanga nnandiruddewo nnyo okutegeera ebyaaliwo. Eno gye nnali tewaali buzibu. Bwe twaalabanga omukka emitala oguva ku maduuka ogookeddwa, twaali tulowooza nti bookya kasasiro nga bulijjo.

Ekimu ku bintu bye nneewunya ennyo be bantu ab’olubatu abakozesa Twitter abaali besigamiddwaako okubunya amawulire agakwaata ku butabanguko. Nga bwetwagafunanga wamu n’abantu abalala nga @camaraafrica, @mugumya, @solomonking bwe twagateekanga ku Twitter wamu ne Facebook nga ze ngeri zokka zetwalina okugatambuza ensi yonna. Ku ssawa nga bbiri ez’ekiro, emikutu gy’amasimu gyatandika okulemererwa olwabantu abangi abaali bagakozesa. Waaliwo neng’ambo ezimu nti emikutu gy’amawulire egimu gyaali givudde ku mpewo. Naye nze we nnali nnafunanga amawulire gonna, nga emikutu gifulumya ebyaaliwo nga bwe baasobolanga. Monitor yalangirira nti laadiyo emu yali eggaddwawo lwa ‘kukuma mu bantu muliro’. (N’emikutu emirala 3 gyaggalwawo). Nnina okwebaza ennyo MTN, netiwaaka yaabwe yasigalako era nnasobolanga okuweereza wamu n’okufuna obubaka nga ssifunye buzibu.

Embeera nga zino bwe zibaawo, kirabika nga awatali asobola kukufunira mawulire mu bwangu obwetaagisa. Ku mulundi guno, nesigama mikwano gyange ku yintanenti wamu n’abantu abalala. Mbeera wano naye obutaba na ttivvi oba laadiyo kyategeeza nti Twitter, Facebook n’essimu yange byafuuka ensulo z’amawulire ze nnalina zokka.

Katusuubire nti obutabanguko bwagendedde ddala.

Osobola okweyongera okugoberera nga oyita ku #kampala oba emikutu gy’okunonya mu buliwo nga Scoopler ne OneRiot. N’era osobola okutugoberera ku @appfrica ku Twitter.

Ekifananyi kya BBC

AMD nga be bamu ku basinga okukola obuuma okubeera enkwaaso z’okukozesa mu kalimagezi (chip) bakozeeyo ka chip akapya ke bayise Congo. Ka kompyuta akatono akaasooka okukolera ku tekinologiya ono kalangiriddwa jjuuzi mu Ferrari One. Era nga bwe kyabadde kisuubirwa, AMD banenyezeddwamu olwokutuuma ka chip kano erinnya Congo nga ate Coltan nga kino kya bugagga ekisimwa mu Congo agambibwa nti y’omu ku bivuddeko okunyigirizibwa, entalo mu mawanga, okutulugunyizibwa wamu n’obusambattuko obulala obuli e Congo. Coltan akozesebwa okukola bu chip obumu obuli mu masimu wamu ne mu kompyuta.

Omumyuuka wa Pulezidenti ow’okuntikko era nga ye akulira okubunyisa AMD nga ye Nigel Dessau yayogedde bino ku mukutu gwa yintanenti:

AMD enenyezeddwaamu gyebuvuddeko kubanga twatuuma ka chip kaffe akapya erinnya ly’omugga ‘Congo’, nga erinnya erikazibwaako. Abamu kino tekyabayisa bulungi, era nga twali tetukigenderedde chip eno okukwataganyizibwa n’eggwanga lya DR Congo. Nga bwe kibadde, kubanga twali tusemberedde okutongozebwa kwaako, twaali wakati w’okukyuusa erinnya tukozese eryo lyennyini eryaali linnyonnyola obulngi nga lye “2nd Generation Ultrathin Platform” naye ate abamu ne balowooza nti tuli batiitiizi.

Njagala okukinnyonnyola kati buli omu akitegeere. Kino kye kyabaawo.

Ku D7 omwaka guno nnalaba okwolesa kwomuwandiisi w’emizannyo era omulwanyirizi w’eddembe Eve Ensler nga ayogera ku “ebifulumizibwa ebitaliimu buliisa maanyi”. Nnina okukkriza nti nga ekyo tekinnabawo nnali ssimanyi busambattuko buli Congo. Osobola okweyongera okumanya Eve bye yayogera wano.

Kumpi mu kiseera kye kimu, abalala abaali banyigiriziddwa ku buvuyo buno n’era mu butali bugenderevu batandika okussaawo enkolagana wakati werinnya lyaffe lino (nga lyaali lisuubirwa okuba nga lya kyaama naye lyaafuluma) n’ekubambulira ekiri e Congo, era kino nekigenda ku mikutu egimu ku yintanenti. Era bino byonna byaliwo nga tuli mu mugendo gw’okukyuusa erinnya lino tugiyitire ddala errinnya ettongole (mu ngeri y’emu ‘Yukon’ yafuuka ‘Ist Generation Ultrathin Platform’), n’olwekyo chip eno twaali tutandise okugiyita ’2nd Generation Ultrathin Platform’.

Okusinziira ku wikipedia: Coltan lye linnya mu Afirika erikozesebwa okuyita Columbite – tantalite, ekyuuma ekiddugavu omuva niobium (nga yayitibwanga columbium) wamu ne tantalum. ekyobugagga kino kisingamu columbite, kwe kutandika ekitundu kyaakyo n’erinnya ‘col’. Okutambuza Coltan mu bubba kogambibwa okuba nti ye engeri esinga okufuna sente eri abasirikale abali e Congo. Omukutu ogumu ogwa ‘Toward Freedom’ gugamba nti okunoonya Coltan kwongedde ku ntalo z’e Congo; nti obwagazi bwekyobugagga kino kireetedde ebibiina ebirwanyi okuva e Rwanda wamu ne kampuni ezisima ebyobugagga nga ziva bulaaya okwagala obukadde bwa ddoola mu kyuuma kino ekitasangika, nga oluusi bakaka abasibe abakwatiddwa mu lutalo wamu n’abaana abato okukola mu birombe bino.

Kiki ky’olowooza? Twetaaga kompyuuta n’amasimu ebitaliimu ntalo?

Katweyongereyo n’emboozi yaffe ku bintu ebiyinza okudda mu kifo kya PayPal mu Afirika yaffe. eBillme nkola mpya eyatongozebwa mu Amerika, nga esobozesa abantu abatalina kaadi ya Credit card okusasula ku yintanenti. Nga PayPal, MoneyBookers, Google Checkout n’ebirala, eBillme nkola eyetagisa okusobozesebwa emikutu gya yintanenti.

eBillme ekola etya?

1.Genda ku mukutu gwogulako ebintu ku yintanenti osalewo byoyagala okugula nga bulijjo.
2.W’ofulumira omukutu ogwo, londa eBill nga engeri y’okusasulamu.
3.eBill ejjakuweereza obubaka obukubanja.
4.Osobola okusasula ku yintanenti nga okozesa akawunta yo eya banka, oba ogumu ku mikutu gyabwe 75,000.
5.Nga omaze okusasula, eBillme nga esasula ekintu ky’oguze, olwo kiryoke kikuweerezebwe ku lyaato.

Nga bwe kiri, enkola eno esobola okukolera ffe Abafirika abatalina kaada ya ‘credit card’ kubanga kikusobozesa okusasula nga okozesa MoneyGram (eringa Western Union), nga esangibwa mu nsi yonna. Era osigala nga olina okusasula ensimbi zonna ezetaagisa okutambuza ensimbi, naye kintu ekisobozesa okusasula ku yintanenti.

Omutimbagano gwaabwe teguwa bubaka bwonna ku kubaawo kwenkola yaabwe wabweeru wa Amerika, naye enkola eyafananyiriza eyo esobola okugonjoola ebizibu mu Afirika ebyesigamye ku butaba na credit card n’okusuubula ku yintanenti mu Afirika. Enkola eno yeraga nga engeri abasuubuzi ku yintanenti gye bayinza okutuuka eri abo abatakozesa banka mu Amerika nga bano bali mu bukadde bw’abantu.

Enkola nga zino mu Afirika mwe ziri mu ngeri etali ntongole. Abantu abava ebweru okukola mu Afirika wamu ne Abafirika bameka abalina akawunta mu banka ebweru abesanga nga bakozesa credit card wamu ne PayPal okugula ebintu ku yintanenti, nga kw’ogasse n’okusasulira enkola ya yintanenti? Ekibulawo kwekutongoza enkola zino, enkola ennung’amu esobozesa abasuubuzi ne zi banka okubeera n’omuntu omulala wakati.

Ani agenda okubyenyigiramu?

Lepetitnegre abuuza, nga bwanokolayo nti, wadde nga ebitundu ebisinga mu nsi bitwaala ekyokuba ne yintanenti nga eddembe ly’obwebange, mu Afirika kino kikyaali kirooto. Emikutu tegiriiwo, amawanga agasinga gakyaali mabega nnyo, n’olwekyo enkulaakulana mu tekinologiya nzibu ya kulaba mu kiseera ekijja.

Ebyempuliziganya birina okulabibwa nga ekkubo, sso ssi nga enkomerero ya byonna. Kye ng’amba, tekirina mugaso okuteekawo enkola z’okubunya ebya tekinologiya nga tewali kigendererwa kya maanyi. Kiba kirungi nnyo okutunuulira ekifaananyi ky’omumaaso: Tekinologiya ono agenda kutuleetera ki? Atya? Kumuwendo ki? Ekyokulabirako, gavumenti ezimu zikyabunya amasimu g’olukomo mu bitundu amasimu g’omungalo byegawamba edda. Essimu z’olukomo zaali nnungi emyaaka egyayita, naye kati, okugaana okukyuusa enkola eno kitulemaza.
Kyandibadde kisingako okukozesa sente ku nguudo, eby’obulamu, wamu n’obuyigirize mu kifo ky’okwanguyira ku tekinologiya omupya?

Mu butuufu bwe kiri. Naye ate ekyo tekitegeeza nti Afirika teyetaaga yintanenti. Kitegeeza butegeezi nti okufuna yintanenti, nga okulwanyisa obulyaake, okwongera amaanyi by’obulimi n’obulunzi, okwongera ebyenfuna, okutandikawo bizinesi, n’obukadde bwebintu ebirala ebyetaaga okukulaakulanya kyandibadde kitwaalibwa nga ekikulu. Ate zi gavumenti mu Afirika zirina okufuba ennyo okwenkanya ebya tekinologiya mu mbalirira zaabwe, emiwendo egisoboka, n’enkola ezirowoozeddwaako obulungi.

Le net c’est un outils, au même titre qu’un pigeon voyageur ou qu’un tam-tam, si il est bien utilisé, il permettra un bon en avant indéniable, mais à lui tout seul il ne sert à rien!

Ebyo bya Lufalansa ebitegeeza:

yintanenti kikozeso, nga ssinga kiba kikozeseddwa obulungi, kijjakukola emigaso, naye nga ate mu kkyo kyennyini, tekirina kye kikola!

j
Gyebuvuddeko, GLO-1 omukutu gwa waya eva e Bungereza okutuuka e Nigeria nga ya buwanvu bwa kilo mita 9,800, era nga y’esoose okukolebwa kampuni kin’omu, gwatuuse mu kibuga Lagos ekya Nigeria. GLO-1 esuubirwa n’okutuuka ne mu Accra Ghana.

Emikutu egisinga egiyita wansi w’amayanja, nga ogasseeko ne SAT-3 ogugatta obugwanjuba bwa Afirika ku nsi yonna, gyazimbibwa na kwegatta kwa kampuni nakin’omu wamu n’ebitongole bya gavumenti. GLO-1 ya njawulo kubanga ebyensimbi byaayo byonna byakolebwaako kampuni ya Nigeria eya GlobalCom. Aba GLO bagamba:

Omukutu gwa GLO-1 nga bwe guyimiridde kati n’obusobozi bwokugaziwa bwe gulina gujja kuba gumala okubunya yintanenti yonna eyeetagibwa mu Nigeria okumala emyaaka nga 15 oba 20 mu kuteebereza okutono okukoleddwa. Yannyonnyodde nti kampuni y’ebyempuliziganya eno etunuulidde obwetaavu bwa Nigeria bwonna, n’agattako nti GLO-1 “esobola okutambuza obubaka bw’amaloboozi obwa kampuni zonna ezetoolodde ensi. Tusobola n’okuweereza enkola esobozesa kampuni ezimu okwanguyirwa okutambuza emirimu”.

Nigeria wetwogerera eyimiridde ku NITEL yokka okutuuka ku mugguko gwayo ogwa SAT-3 era egula obuweereza obulala okuva mu baliranwa baabwe aba Benin.